Ebirime ebigenda okukuwa ssente z'amangu otandike omwaka ng'oseka

KYABULIJJO embeera ya ssente okukaluba ng’omwaka gutandika ate nga ku mulundi guno kya kweyongera olw’omuggalo ne ssenyiga omukambwe asannyalazza ebyenfuna .

Bya HERBERT MUSOKE ne EMMANUEL SSEKAGGO

Erimu ku makubo amangu mw'osobola okwetaasiza embeera eno bwe bulimi kuba waliwo ebirime ebisobola okukutaasa n'ofuna akasente mu 20ne 90 n'obeera ng'osobola okweyimirizaawo n'okwewala okugwa ku mabanja agayinza okutwala n'ebibyo.

ENVA ENDIIRWA

Harriet Nakabaale owa Camp Green e Kawaala omukugu mu kulima enva endiirwa ate n'okulimira awafunda agamba nti bw'osimba enva endiirwa zisobola okukula amangu era n'ofuna ssente mu bwangu. Singa ettaka oba olirabiridde bulungi era nga olitaddemu ekigimusa, osobola okukungula ddoodo, ebbuga n'ejjobyo mu nnaku 21 zokka. Ggwe ayagala ensigo z'enva endiirwa zino zimere mangu, osobola okuzinnyika mu mazzi olunaku lumu nga kino kiziyambako okufuna obunyogovu obumala okuva mu ttaka era ne zimera mangu.

SUKUMAWIKI, SIPINAKI N'OBUTUNGULU OBW'EBIKOOLA BITWALA ENAKU 30 N'OKUNGULA

Bino nabyo  bikula mangu nga mu mwezi gumu gwokka oba otandise okunoga olwo n'otwala ebbanga eddala nga lya mwaka mulamba n'ekitundu nga okyanoga ku kikolo kye kimu. Obutungulu obw'ebikoola nabwo butwala ebbanga lya nnaku 30 n'otandika okubinogako wabula wano olina kuba nga wasimba ndokwa yaako. Singa osimba akasigo kasobola n'okutwala omwezi nga tekannamera .

NNAKATIGwe ayagala okusimba nakati olina okumanya nti ojja kuguminkiriza emyezi ebiri gyokka okukungula . Nakati owaffe omuganda akungulwa omulundi gumu kubanga ye okuula mukuule wabula waliwo ekika kya ekimanyiddwa nga ‘big leaf' kino kyo okungula nga osala busazi era nga bwe kireeta amatabi.

WOOTAMERONI

Ebika bya wootameroni ebisinga bitwala ennaku 28-30 okukunkula okuva lw'osimbulizza. Yiika esimbibwa omukebe ogugula 300,000/- nga muvaamu ensigo 4,000. Wano okungula wakati wa meroni 8,000 ku 40,000 okusinziira ku ndabirira. Singa buli emu ogitunda 1,000/- kitegeeza ofuna wakati w'obukadde munaana ku 40. 

ENNYAANYA

Ennyaanya kimu ku birime ebirinnya beeyi naddala mu biseera by'omusana. Okutandika mu February, okutuukira ddala mu May, bokisi erinnya n'etuuka ku mitwalo 45 ku mulimi ate mu katale n'etuuka ku 60. Mu beedi ennyaanya emalamu ennaku 15 olwo n'ogisimbuliza ne mu nnimiro n'emalamu ennaku 75 okutandika okunoga. 

KASOOLI

Dr. Charles Sserwanga Kasozi akola mu  National Crops Resources Research Institute (NARO) e Namulonge, agamba nti ekimu ku bye bakoze kwe kufulumya kasooli akula amangu ng'ebika kati ebsinga bikulira mu nnaku 90. Kasooli osobola okumufunamu amagu gamba singa omutunda mubisi eri abookya oba abamufumba. Bw'omusimba kati, kasooli wo abeera atuuka ku ntandikwa ya April, olwo omunwe n'ogutunda ku 500/- ku nnimiro. Ebika bya kasooli nga Pana 513, ebirala ebitandika n'ekigambo "Longe" byonna, MM, Victoria, n'ebirala bosobola okukukolera obulungi ky'oyagala. 

EBIJANJAALO

Ebika by'ebijanjaalo nga NARO BEAN 01, Nambaale omumpi (NABE 17), Nambaale omuwanvu (NABE 19, obwa kyenvu (NAROBEAN 03), Knyeebwa (NABE 15), byonna bikulira mu nnaku 90. 

ENTULA NE BBIRING'ANYA

Grace Katono okuva ku Tele Agric e Magere-Kasangati mu Wakiso agamba:

Zino zibeera n'akatale ka maanyi mu kaseera k'akasana ke tuyingiramu era zirinnya bbeeyi ne batandika kuzibalira ku ngalo ng'entula ssatu zitundibwa 100/- ate biring'anya kimu 200/- oba oluusu ne 500/-. Bikulira wakati w'ennaku 70 ne 85 okuviira ddala mu nassale etwala ennaku 20.

KAAMULALI

Daniel Kituzi omulimi wa kamulali e Wakiso agamba nti kaamulali kirime ekivaamu ssente z'amangu eziwera ate mu bwangu, kirina akatale wadde ng'abantu abasinga bakibuusa amaaso. Ggwe anoonya ekirime ky'osobola okulima osobole okukyuusa obulamu, okulima kaamulali, bizinensi egenda okukukolera. Kamulali akulira mu nnaku 90 ng'ennaku 30 ezisooka azimala mu nnasale.