Abaana basinga kuyigira ku bikolwa bya muzadde

Abaana basinga kuyigira ku bazadde mu bye boogera ne bye bakola.

Rev. Richard Muwanguzi  ne muwala we Sylvia Kusasira buli omu yeenyumiriza mu munne era basanyufu.

Bya Stella Naigino

Abaana abamu bafuna emize abazadde gye banenyeza abasomesa ku masomero ne batamanya nti be basooka mu kubayigiriza nga  bayita mu bye boogera n'e bye bakola.

Abakugu mu by'abaana bagamba nti, omuzadde oba omuntu yenna abeela n'abaana alina okwegendereza ebintu by'akola, by'ayambala  ne by'ayogera nga waliwo abaana.

Paul Nyende, omukugu mu by'abaana agamba nti omwana buli lw'alaba omuzadde nga yeeyisa mu ngeri yonna amanya nti naye asobola okweyisa bw'atyo naye ng'amukoppa.

Ensonga lwaki osaanye okweyisa obulungi mu baana

  1.  Kiwa omwana engeri entuufu ey'okweyisaamu. Omuzadde buli lw'akola ebintu ebirungi eri omwana we, omwana amwenyumirizaamu era n'akola ebintu abalala bye basiima. Kino kimuleetera okusiimibwa abo b'abeeramu era omwana oyo ne yeenyumiriza mu bazadde be.
baana abemyaka nga gino bakwata buli kye balaba ne kye bawulira ano usa ukiibi artha ansamba illian antaba ill umwine ichard ukambwe ne ohnson wire nga basanyufuAbaana ab'emyaka nga gino bakwata buli kye balaba ne kye bawulira. Wano Musa Mukiibi, Martha Nansamba, Lillian Nantaba, Bill Tumwine, Richard Mukambwe ne Johnson Bwire nga basanyufu.

 

  1.  Omwana wo omwenyumirizaamu. Ronald Balisanyuka, akolagana n'abaana agamba nti omuzadde aliwo nga kabona eri omwana era nga buli lwe yeeyisa obulungi n'alagira omwana okukola kye kimu mu bantu omwana akopa ekyo kyennyini.
  2.  Omwana ono eneeyisa ye emuyamba okukola emikwano emirungi era n'akola ebintu ebisanyusa omuzadde. Kino kiwa omuzadde essanyu.
  3.  Omwanawo tatera kufuna bizibu.

Balisanyuka agamba nti, ebiseera ebisinga abaana abeeyisa obulungi tebafuna buzibu era nga lwe babufuna buli omu afaayo okumanya kwe kivudde. Naye abaana abakopperera emize okuva mu bye balaba mu bazadde, bafuna obuzibu. Bano be bagobwa mu masomero, be beegatta mu bibinja ebimenyi by'amateeka ne basibwa n'ebirala.

sylvia Kusasira with the father Reveland Richard Muwanguzi

Omwana owe mpiisa ayagalwa baane(Musa Mukiibi Martha Nansamba Lillian NantambaBill tumwine Richard Mukambwe ne Johnson Bwire_.JPG