Wuuno omusajja Kijambiya atadde ensi yonna ku bunkenke-Yaakatta abantu 1000 mu myaka 6

KIM Jong Un, ye Pulezidenti wa North Korea. Ku myaka 32 gyokka, yeefudde kijambiya n’ateeka ensi ku bunkenke. Yaakatta abantu 10,000 mu myaka mukaaga omuli bannamagye n’abooluganda kyokka Abamerika be bakimuteekako nti yaakatta kakadde abamu kye bagamba nti baagala kumwonoonera linnya olw’okuba n

Bya Musasi waffe


KIM Jong Un, ye Pulezidenti wa North Korea. Ku myaka 32 gyokka, yeefudde kijambiya n’ateeka ensi ku bunkenke.
Yaakatta abantu 10,000 mu myaka mukaaga omuli bannamagye n’abooluganda kyokka Abamerika be bakimuteekako nti yaakatta kakadde abamu kye bagamba nti baagala kumwonoonera linnya olw’okuba nnakyemalira.

Baminisita abasumagirira mu nkiiko ze oba abakola emirimu gadibengalye abakuba masasi ne bafa era eggwanga lye alifugira ku nkato kubanga n’abajaasi abakulu mu magye bamutya.

Pulezidenti Kim Jong Un (wakati) ng’ali mu lukiiko lwe yatuuza mu nnyonyi n’abamu ku bakulu mu magye.

Kim Jong Un y’ani?
Nga bw’ebadde enkola ya bajjajja be, teri amanyi mwaka mutuufu gwe yazaalibwamu. Kyokka abasinga bagamba wakati wa 1981 ne 1983 era kigambibwa ku myaka 32 gy’alina ye pulezidenti asinga obuto mu nsi yonna.
Yasomera Switzerland, Girimaani ne Amerika. Oluvannyuma yaddayo awaka n’asoma eby’amagye era yalaga abaali bamutendeka nti muyizi mulungi ayinza okufuuka ensonga mu maaso.

Lwaki ye yalondebwa?
Mukulu we, Kim Jong -Nam bangi gwe baali batunuulidde okubeera omusika wa kitaawe. Kyokka okuva lwe baamukwata ng’ayingira eggwanga lya Japan mu bukyamu ebintu byakyuka.

Ate ne kitaawe Kim Jong-il yali amumatira olw’okuba n’omutima omugumu. Abaali bamumanyi okuva mu buto bagamba nti yali tayagalira ddala muntu amuwangula era ne kimala kibaawo ng’amuliddeko ekifo amugwa mu bulago.

Emmundu Pulezidenti Kim gyakozesa okutta abantu

Ku myaka 18, omuvubuka ono yagamba kitaawe nti, tuli mu bulamu obw’ekirangira nga tuvuga mmotoka ez’ebbeeyi, embalaasi, tuzannya ‘basketball’ ne ssente ze tusaasaanya teziriiko bajeti naye ate abantu baffe ab’awansi?

Ebigambo bino byakuba wala kitaawe ne yeewuunya engeri omwana gy’ayagalamu abantu.
Nga January 15, 2009, Kim Jong-Il (kitaawe) yamulangirira ku bukulembeze bwa North Korea ng’alina emyaka 26 gyokka. Mu butongole, Kim Jong Un yatuuzibwa ku ntebe mu 2011.

Abamuwakanya abakuba masasi
Olw’okuba nti Kim Jong UN yalya obwapulezidenti nga mwana muto, yaweebwa abantu abakulu okumulabirira n’okumuluhhamya mu nsonga ezitali zimu. Kyokka bwe yanyweza obuyinza bonna n’abatta.
Ku bano kwaliko Ri Yong-ho, Kim Yong-chun, U Tong-chuk ne Kim Jong-gak era kigambibwa nti okubatta baali batandise okukendeeza emikisa gye okusemberera obukulembeze bwa kitaawe.

Okumanya omuvubuka ono yali amaliridde, mu myezi 11 gyokka, yali amaze okukyusa abakulira amagye kitaawe ge yalekawo n’ateekawo balowooza nti bamuwuliriramu.

Yatta kkojja we Jang Sung-taek, gwe yateebereza nti agezaako okunafuya obukulembeze bwe. Era famire ya Jang Sung yonna agenze agimalawo nga buli amwesimbamu amutta okuli n’abazzukulu.


Eyali minisita w’amagye, Hyong Yong-choi yattibwa mu ngeri gy’oyinza okugamba nti y’akumusaanyirizaawo ddala. Kim Jong Un ng’ali wamu n’abawujja obunyama abatamuva ku lusegere, yakwata minisita ono n’amuteeka ku ‘firing squad’ kyokka mu kifo ky’okumuttisa amasasi, yalagira ne baleeta mizayiro eyamukuba. Baakuba enduulu ng’eno bwe bawaga nti ‘kale wabeewo addamu okumumanyira’.

Nga tannaba kutta minisita ono, mu 2012 Pulezidenti Kim Jong Un yasooka kutta eyali omumyuka we nga bakozesa emmundu gy’oyinza okuyita luwanda masasi.

Jang Song Thaek, ssenga wa Kim Jong Un yalaga obutali bumativu olw’engeri taata w’abaana be gye yattibwamu ekyaddirira, naye kumutta. Ono baamuttisa butwa.

Waliwo n’abantu 500 abaafa oluvannyuma lw’ekizimbe okugwa. Ekizimbe kino kisangibwa mu kibuga ekikulu nga kyaliko emyaliiro 23. Bino olwagwa mu matu ga Pulezidenti Kim Jong Un n’ayitirawo bayinginiya abaali bakikolako n’abateeka mu lujjudde ne babafukirira amasasi agaabattirawo.

Pulezidenti Kim Jong Un (ku ddyo) ng’abuuza ku baazirwanako

Munnamagye eyakulira eby’okuzimba ekizimbe kino ye yatwalibwa mu kkomera n’asibwa mayisa. Ate Sang Hon, eyali mu ministule y’ebyokwerinda yakumwako omuliro ng’abantu balaba n’afa. Ono baamulanga kuteeka mu nkola biragiro bye yali mukama we nga tasoose kwebuuza ku pulezidenti Kim Jong Un.

Buli w’abeera baba  bawandiika
Omusajja ono amalala gaamuyitirira. Buli w’abeera abakuumi be balina okuwandiika buli kimu ate ne bakitwala mu bakama baabwe okukakasa nti buli omu by’awandiise bikwatagana n’ebya munne.

Pulezidenti Kim Jong Un ne bw’akolola, ayasimula, okuyita omuntu erinnya oba okuseka byonna birina okuwandiikibwa ate bano abakola emirimu gino si bannamawulire. Enkola eno, Kim Jong Un yagiggya ku jjajja we naye eyali agikozesa. Wabula kimuyambye okutambuza obulungi emirimu kubanga ebintu ebisinga era ababikolera baba batya okumala geekolera.

Omanyi buli kigambo omukulu ky’ayogera balina okukitwala nga ky’amakulu nnyo era n’olwekyo kiba kirina okuwandiikibwa kisobole okugasa abalala. Bw’oba oyagala okuwulira akamuvaamu, muddeyo gye mutwala ebiwandiiko byamwe nga by’owandise tebikwatagana bulungi!

Obulamu bwe
Olupapula lwa Washington Post, olufulumira mu Amerika lw’amukolako yintaviyu mu 2009, ne bagamba nti yali ayagala nnyo okusiiga ebifaananyi bya Micheal Jordan, okuzannya Basketball n’emizannyo gy’abaana abato.

Mukyala we, Ri SoL-Ju yakubwako ekifaananyi nga y’akagula ensawo ya doola 1,600 (eza Uganda 5,760,000/-). Wadde nga musajja nnakyemalira, anyumirwa nnyo okubeera mu bantu be era alina akazinga gy’atera okutwala abantu ab’enjawulo nga n’abamu baabulijjo n’abawaamu.

 

Wuuno omusajja Kijambiya atadde ensi yonna ku bunkenke