Isabirye ne Rebecca Jjingo bakooye laavu y'enkukutu

JOEL ISABIRYE ne Rebecca Jingo ennaku zino bali luno!

JOEL ISABIRYE ne Rebecca Jingo ennaku zino bali luno! Baabadde mu lonki ya Sophie Nantongo eya ‘Kajiiko nnattabula’ ku Hotel Equatoria naye ng’ogamba bali mu ‘hanemuunu’.

Obwedda batera ne beekuba obwama, eno nga bwe beekoonako ng’abali mu kawuna. Omanyi abaagalana bano baludde
nga bakukuta era nga bwe babeera mu bifo by’olukale ne balaba owa kkamera, nga beekweka.

Naye okuva Bukedde lwe yayasanguza enteekateeka z’okwanjula kwabwe, kati tebakyekweka. Laavu yaabwe kati bagibuka abantu mu maaso!

 

Isabirye ne Rebecca Jjingo bakooye laavu y’enkukutu