Omusono gw'ono gutabudde abagenyi ku mbaga

Ono yayambadde omusono ssonsomola!

OMUKOLO gwabadde gwa kugaba ngule eri abanywedde mu bannaabwe akendo mu byemizannyo.

Wabula, bbo abawala bangi baagufudde mwoleso gwa misono. Mu bano mwe mwabadde ne mwanamuwala ono eyazze yeesaze akawero nga kalaga omugongo gwe gwonna.

Oli nga bw’amusemberera obulungi ng’atambula oba ng’atudde, ng’asobola n’okulengera ‘ebyama’.

Akabaga kano kaabadde mu Imperial Royale Hotel mu Kampala ku Lwomukaaga ekiro. Engeri
gye yabadde ayambaddemu, obwedda buli w’adda ng’abantu tebamuggyaako maaso naddala abasajja.

Era bangi baalabise ng’abasabbalazza. Omu ku bagenyi era bannabyamizannyo omukazi, Suzan Muwonge yawuliddwa ng’akuba banne akaama nti, “mu butuufu omuwala ono nange mpitiriddeko...” Oba omuwala ono y’ani era w’awa?


  Omuwala mu musono ‘kasooto’.

Omusono gw’ono gutabudde abagenyi ku mbaga