Eyakoze effujjo mu lukiiko bamunyize ebitoliro

DOUGLAS Ssemakula y’omu ku beetabye mu lukiiko olumu e Lugogo.

DOUGLAS Ssemakula y’omu ku beetabye mu lukiiko olumu e Lugogo.

Yawanise omukono naye abeeko byateesa kyokka ne batamuwa mukisa. Kino kyamunyiizizza n’aleekaanira waggulu nga bw’abuuza lwaki bamusosola.

Yagenze mu maaso n’okukola effujjo era abategesi baagenze okulaba nga kisusse kwe kuyita poliisi eyamukutte ku nkoona.

Yabadde agezaako okuwalira ne bamusika ebitogi nga bwe bamuyisaamu empi n’alyoka akakkana.

Eyakoze effujjo mu lukiiko bamunyize ebitoliro