Mega Dee ebyana bimutabula

OMUYIMBI Gen. Mega Dee tasuula ‘siteepu’ ku bakazi. Y’omu ku bayimbi abataalutumidde mwana ku kabaga akaategekeddwa ku Club Rouge wiiki ewedde. Mu kuyingira, yabadde n’omuwala abamu gwe baayise omugenyi we.

Wabula bwe baatuuse mu bbaala munda, ekyana kye yazze nakyo n’akibulako era obwedda kimunoonya naye ng’alina w’akasibidde n’ekyana ekirala ekyabadde mu kagoye akakimiima ng’ate kampi kazibu.

Ekyana kye yazze nakyo, yakirese mu kifo ky’abakungu waggulu ye n’adda wansi mu ky’olukale gye yasanze omulala ne batandika okwekuba obwama n’okwenyiga mu ngeri ey’omukwano. Oba ebiwala bino byombi abiyita atya? Nze naawe.

Mega Dee ebyana bimutabula