Aziz laavu agitegeera

OMUYIMBI Aziz Azion ebintu bya laavu takoma kubiyimba mu nnyimba wabula abissa ne mu nkola. Kino yakiraze mu kivvulu ky’endongo ya Street Bash.OMUYIMBI Aziz Azion ebintu bya laavu takoma kubiyimba mu nnyimba wabula abissa ne mu nkola. Kino yakiraze mu kivvulu ky’endongo ya Street Bash.

Aziz yazze ne mukazi we Daisy we nga yeesaze emmaali era nga gubasaza mu kabu.

Ekiseera kyatuuse Aziz n’aggyamu akakooti ke yabadde ayambadde ku ngulu olwo ate mukazi we n’akeesala ekyaleetedde abantu okutandika okwebuuza oba Aziz ne mukazi we bambalira wamu.

Wabula bwe baabuuziddwa akakodyo ke baabaddeko kwe kugamba nti baasalawo okwagalana ng’ebyabwe bya bombi ekyakakasizza abantu nti ddala Aziz ategeera ebya laavu.

 

Aziz laavu agitegeera