Ssebo nkwata mpola ntamidde!

OMUKAZI afuuye ebbidde n’agangayira embwa n’atandika okugiyita eng’wa. Yabadde ali mu kkubo agenda atagala ne zireeta abaserikale ba poliisi abaabadde ku opalesoni.



OMUKAZI afuuye ebbidde n’agangayira embwa n’atandika okugiyita eng’wa. Yabadde ali mu kkubo agenda atagala ne zireeta abaserikale ba poliisi abaabadde ku opalesoni.

Mmotoka baagisimbye kumpi ne we yabadde n’ekyaddiridde kutandika kubavuma. Baasoose ne bamusiriikirira kyokka baagenze okulaba ng’ayise w’alina okukoma omu kwe kumukwata amataayi n’amukunguzza okumutwala ku kabangali.

Yalabye bamulemeddeko kwe kutandika okweyogeza nti, ‘‘Ssebo afande nkwata mpola ntamidde’’. Byabadde mu bitundu by’e Buloba wiiki ewedde.

Ssebo nkwata mpola ntamidde!