Sserugga agobezza Kusaasira emmotoka y'omusiguze n'afuna ekyuma ekirala

KATEMBA ali mu laavu ya Fred Seruga ne maama kabina, Catherine Kusasira si waakuggwa kati, anti woosomera bino nga Kusasira afunye ekyuma ekipya ekika kya Prado TX mw’atambulira ennaku zino.

KATEMBA ali mu laavu ya Fred Seruga ne maama kabina, Catherine Kusasira si waakuggwa kati, anti woosomera bino nga Kusasira afunye ekyuma ekipya ekika kya Prado TX mw’atambulira ennaku zino.

Omanyi Kusasira bwe yali akyawaganye ne taata w’abaana be, Seruga, waliwo omujaasi amanyiddwa nga Kiwanuka eyamupasula era n’amugulira n’emmotoka ekika kya Harrier eyakazibwako erya Kawundo era gy’abadde avuga. Naye mu kaweefube w’okudding ana gwe baliko, Seruga kwe kugimugobya.

Kiwa yapasula Kusasira ku Seruga mu June wa 2014. Agava e Makindye gagamba nti Kusasira bwe yasazeewo okudda ewa Seruga ne bakuba n’oluyimba ng’amwegayirira amusonyiwe, babadde batuula mu nkiiko ku Calendar okuggyawo ebiyinza okuddamu okubatabula.

Nga n’emmotoka ya Kiwa yabadde emu ku nsonga era n’asaba Kusasira asooke agyeggyeko olwo boogere. Ku Mmande, Kusasira yatuukiridde maneja waabwe Musa Kavuma n’amubuulira obuzibu bwe era n’amusaba amwongere ku ssente amuddize Harrier amuweemu mmotoka endala naye kye yakirizza era ddiiru baagikutulidde ku Calendar.

Yafunye Prado TX nnamba UAW 189E. Kusasira agamba nti yakkirizza okweggyako Harrier ya Kiwa, kiwe Seruga emirembe mu mutima.

 

Sserugga agobezza Kusaasira emmotoka y''omusiguze n''afuna ekyuma ekirala