Aamaal ayongedde ggiya mu laavu yaffe - Kenzo

OMUYIMBI Eddy Kenzo ng’amannya ge amatuufu ye Edirisa Musuza ne Rema Namakula omukwano gubasaza mu kabu.

OMUYIMBI Eddy Kenzo ng’amannya ge amatuufu ye Edirisa Musuza ne Rema Namakula omukwano gubasaza mu kabu.

Kenzo atenze laavu ya Rema gy’agamba nti erimu omuchuzi... Muchuzi… n’agattako n’okulayira nti tewali ayinza kubaawukanya ka babe bawala abaamyuka ng’amatungulu b’asisinkana mu bidongo.

Wadde ababiri bano baali basazeewo okukuumira omukwano gwabwe mu nkukutu, ekirabo kya bbebi, Rema kye yawa Kenzo buli lukya kyongera okumucamula kwe kugamba nti, “Rema tewali amusinga era balitukululira ku kaliba….”  

Ye Rema ataddeko akanyiriro n’omubiri ne yeewaana nti kati mukyala wa buvunaanyizibwa era essaawa yonna waakudda mu bujjuvu okukubira abawagizi be emiziki.

Kyokka abamulabyeko n’okulaba ku bifaananyi bye, batenda Kenzo gwe bagamba nti amutaddemu ssente ke kanyiriro ako k’afunye. 

Aamaal ayongedde ggiya mu laavu yaffe - Kenzo