Mundeke nzireyo mu kyalo banzigyeko omuzimu gw'obubbi

Mundeke nzireyo mu kyalo banzigyeko omuzimu gw’obubbi

 Nsubuga n’ebintu bye yabbye ku poliisi e Kitebi

KABWA kabbi kagumya mugongo. Omuvubuka William Nsubuga eyamenye enju ya muliraanwa we Nakibuuka n’abbamu TV ne DVD yeekalizza mu baserikale abaamukutte n’abasaba bamusonyiwe asooke adde mu kyalo bamugobeko omuzimu gw’obubbi.

Yagambye nti abapakasi abaali bakolera ewa jjajja we gye yakulira be baamuyigiriza obubbi. William Nsubuga omutuuze mu Zooni ya St. Anne e Kabowa ye yassizza abaserikale b’oku poliisi y’e Kitebi enseko.

Mu kwewozaako yagambye nti Landiroodi we abadde asussizza okumubanja ssente z’enju ng’ate n’omulimu gwe yali akola gwaggwaawo bwatyo n’asalawo okweyiiya okufuna ssente.

Yagguddwaako omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba SD: 23/30/04/16 n’oluvannyuma bamutwale mu kkooti avunaanibwe.