Sumaya yeebugira leeba

SUMAYA Muwonge owa Bukedde Ttivvi eyatandikira mu kunyumirwa, mu kiseera kino ali mu mbeera ndala anti ekiseera kyonna yeesogga leeba.

 Sumaya (wakati) oluvannyuma baamutisse ekibaya mw’anazazika bbebi.

SUMAYA Muwonge owa Bukedde Ttivvi eyatandikira mu kunyumirwa, mu kiseera kino ali mu mbeera ndala anti ekiseera kyonna yeesogga leeba.

Nnyina Connie Nalugwa yasoose kumukubira ssimu ng’amusaba okumuwerekerako kyokka Sumaya, omuzito ng’asulirira kuzaala kwe kumuddamu nti teyeewulira bulungi.

Connie yamunnyonnyodde nti alina minisita gw’agenda okusisinkana okubaako ddiiru gy’akutula ku pulojekiti yaabwe bombi bwatyo olwawulidde ekya minisita ne ddiiru n’akkiriza okumukima. Olwalinnye mmotoka baasibidde ku Hotel International e Muyenga.

Baatambudde butereevu n’amutwala mu kisenge ekimu nti minisita gy’atudde kyokka mu bwangu obw’ekitalo, mikwano gye abaabadde beekwese, baafubutuse wansi w’obutebe, mu kateni n’obusonda ne bamuyimbira ennyimba ezimuwaana nga bwe yeewuunya n’akaabamu olw’essanyu.

Wano yabadde atuuse ku kabaga akakulembera omukyala asulirira okuzaala akamwagaliza okusumulukuka obulungi akayitibwa ‘baby shower’. Kaamukoleddwa mikwano gye nga bakulembeddwaamu Aisha Kirabo, Desire Mbabazi, Ritah Jeff, Annet Mpagi, Mummy Ann n’abalala.

Baalidde naye ekijjulo n’okusala keeki oluvannyuma ne bamuwa ebirabo omuli ebikozesebwa ku bbebi eyaakazaalibwa ne bagattako okusala keeki.