Janet Jackson ku myaka 50 yeesunga mwana we asooka

Janet Jackson ku myaka 50 yeesuunga mwana we asooka

 Janet Jackson ne bba Wissam Ali Mana

EBBANGA lye bamaze nga banoonya omwana ne batuuka n’okuggwaamu essuubi, kyaddaaki Katonda ayanukudde essaala zaabwe. Bano si balala wabula ye muyimbi Janet Jackson ne bba Wissam Ali Mana omu ku basuubuzi babinojjo abamanyiddwa mu Amerika nga baafumbiriganwa mu 2012.

Mu kiseera kino Janet Jackson awezezza emyaka 50 era akamwenyumwenyu tekakyamuva ku matama nga yeesunga okuwulira ku bisa by’omwana bwe biruma anti ye mwana waabwe asooka.

Ebyo nga bikyali awo, n’omuyimbi ate omuzannyi wa fi rimu Jennifer Lopez 47, naye asuubira omwana we owookusatu era agamba nti wadde baamugambye nti olubuto ku myaka gino lubeera lwakwegendereza, kino tekijja kumugaana kusigala ng’anyeenya ekiwato nga bw’atera okukikola mu nnyimba ze