Kazibwe Mbaziira azze ku Bukedde FM

BUKEDDE Fa Ma Embuutikizi ekuleetedde pulogulaamu empya egenda okukuwa amawulire okwetooloota ensi yonna nga gakwata ku ntalo, ebyafaayo n’ebigenda mu maaso mu nsi.

Etuumiddwa ‘Ekirya Atabaala’ ng’ekutuusibwako okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano ku mikutu gya Bukedde Fa Ma okuli: 100.5 Kampala, 106.8 Masaka ne 96.6 Mbarara.

Ejja kubeerangawo okuva ku ssaawa 9:00 okutuuka ku 11:00 ez’akawungeezi.

Egenda kuweerezebwa kafulu mu kunoonyereza ebyafaayo n’ebyobufuzi, Bashir Kazibwe Mbaziira.

Mu kiseera kye kimu Bukedde Fa Ma ekoze enkyukakyuka mu Pulogulaamu ya Washing Bay (Bakanaabe) ng’ebadde etandika ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo okutuusa ku 1:00 kati y’akutandika ku 11:00 okutuuka 1:00 eyakawungeezi.