Bano abako bali mu lutalo oba?

Bano abako bali mu lutalo oba?

BANO abakulu tebasaagira mu mmere. Baabadde ku mukolo gw’okwanjulwa nga bawerekeddeko munnaabwe mu bitundu by’e Masaka ku kyalo ky’e Kaddugala. We baatuukidde kirabika enjala yabadde ebagguddeko olutalo nabo olwabasimbye empombo ne baziraga kye balinawo.

Ate ssebo baasoose kwetegeka. Omu ku bako olwakutte oluwombo n’asooka afunya ku mikono gy’ekkooti si kulwa nga gikoona mu ssupu.

Abalala engatto baaziggyemu nga zirabika zibookya olwo ne bakoona emmere. Owoolugambo waffe atugambye nti gwe baawerekeddeko yabadde mu nnyumba nga bamuzaala nga bbo bali wabweru baggudde olutalo ku mpombo era yagenze okufuluma ng’entuuyo bazisaza bibatu.