Omugagga Bryan White adduukiridde essomero lya St. Denis Ssebugwawo SS n'obukadde bw'ensimbi

Omugagga Bryan White adduukiridde essomero lya St. Denis Ssebugwawo SS n'obukadde bw'ensimbi

Omugagga Bryan White ng'akwasa abaddukanya essomero ssente

OMUGAGGA Bryan White (Bryan Kirumira) akubirizza abaana abasoma okukozesa omukisa guno basome n’amaanyi nti kubanga kino kye kirabo ekisinga omuzadde kyayinza okuwa omwana we era kye kijja okubayamba okufuuka abantu ab’omugaso mu biseera eby’omu maaso.

Bano era abakubirizza okuba n’emitima emigabi n’okwagaliza nga akatono ke balina bakagabana n’abalala naddala abo abali mu bwetavu.

Okwogera bino abadde ku somero lya St. Denis Ssebugwawo SS e Ggaba gyayitiddwa okubadduukira mu nteekateeka gye baliko okutereeza n’okwongera amaanyi mu kifo omusomerwa n’okuterekebwa ebintu ebikozesebwa mu masomo ga sayansi (Laboratory) era bano abawadde obukadde 6 n’abasuubiza okwongera okubayamba.

Agenze mu maaso n’okudduukirira ebibiina eby’enjawulo ku somero lino omuli SACCO y’abasomesa agitaddemu akakadde kamu, ekibiina ky’abayizi abasoma amasomo ga sayansi wamu n’ekya Red Cross buli kimu akiwadde emitwalo 50 ate olw’essanyu abayizi lye bamulaze nga bamwaniriza n’okumulabako babadde bamulaba na kumusomako mu mawuulire, esomero lyona abagulira eby’okulya ku break.

Ng'ayogera ku mbeera y’eby’obufuzi eriwo mu ggwanga mu kiseera kino naddala ku ky’okukyusa mu ssemateeka akawayiro 102B, Bryan awadde abayizi amagezi obuteeyingiza mu nsonga zino balindirire ekiseera kyabwe kubanga be bakulembeze b’enkya era abakuutidde obutakkiriza kukozesebwa bannabyabufuzi abalina ebigendererwa ebyabwe.  

“Tukulidde ku mulembe gwa Pulezidenti Museveni era tuteekeddwa okumuyigirako n’okumusiima olw’ebirungi byatukoledde. Okulembera abantu obukadde 40 si kyangu olaba omuntu alemwa kulembeera famire ye ate olwo ensi. Kale nga bwetulindirira ekiseera ekyaffe nga abakulembeze b’enkya okutuuka tubeere bagumikiriza ate bakkakamu.”

Ye omukulu w’esomero lino Muky. Teddy Nassiwa Ddamulira asoose okulombojja embeera ey’obugubi gye bayitamu naddala mu mbeera y’ebyensimbi kubanga abayizi abasinga bebalina baana babazadde bamufuna mpola,

Yeebazizza nnyo Bryan White olw’omutima omugabi okubadduukirira era n'asaba abantu abalala okumulabirako nga agamba kino kyakoze takomye ku ddukirira ssomero wabula n’okuzimba eggwanga.