Kemponye ekkomera nnina okukola Hijja

HAALO… Mukyala kenvudde mu kkomera nnina okukola Hija e Mecca omwaka guno neggyeko ekisiraani ky’ekkomera n’okwebaza Allah.

Ebyo bye bimu ku bigambo ebyayogeddwa Isma Tamale ng’afuluma kkooti y’e Nabweru.

Omanyi omukulu ono y’omu ku baali baakwatibwa ku byekuusa ku kutta abakyala mu bitundu by’e Nansana. Tamale olwayimbuddwa bakira akuba “taqbil.. okutendereza Allah olw’okumuyamba okuvvuunuka ekkomera…

Yabadde n’omu ku bakyala be abaamunoonye ku kkooti e Nabweru nga bamutegekedde akabaga okumukulisa.

Tetwategedde oba obuggya baabusibye ku mpagi ne beegatta okukolera awamu kabaga oba buli omu yabadde ategese kake.