Badman tebaamukubira kwemakula

OMUYIMBI ono eyeeyita Suspect kyokka ng’amannya ge amatuufu ye Abubaker Mugisha naye nno taggwaayo.

Kirabika tebaamukubira kwemakula era buli ekimusanyusa amala gakikwatako ne bw’aba takisabye.

Omukulu ono eyali munywanyi wa Bobi Wine ennaku zino abeera mu ggwanga lya South Africa nga yakomyewo okulambula ku banywanyi be ne bizinensi ze.

Era olwatuuse n’akwatagana ne mukwano gwe Bobi Wine n’ebyana mannya abakazi ne balinnya eryato ne baseeyeeya nga bwe banywa n’okulya ku ssente zaabwe ng’eno bwe bamuwaana okuba ‘Omusama ow’amaanyi’.

Ndowooza naye wano we yafunidde amaanyi omukono gwe ne gutandika okumulalukako era okukkakkana nga gusibidde ku bisambi by’abakazi abaabadde batudde naye nga beesaze obukete.

Waliwo omuwala manya omukazi amulemeddeko nti ssebo Badman fuga engalo zo nga yeefuula atabiwulira n’okwetunuza ebbali.

Owoolugambo waffe atugambye nti obwedda waliwo abamucookooza akolewo akatiisa bw’aba yeeyita musajja mu kifo ky’okwesesa ng’ate ebyana bimulazeeko.