Master Parrot azuukidde

ABABADDE beebuuza omuyimbi Master Parrot gye yabulira wuuno tumuzudde. Parrot ng’amannya ge amatuufu ye David Sifaayo amakanda yagasimba mu bitundu by’e Kiwaatule.

Eno gy’ava n’alumba mu bbaala n’ebyalo n’akuba omuziki mu ngeri y’okweyiiya okufuna ekigulira magala eddiba.

Master Parrot yakyaka nnyo mu biseera we yabeerera mu Fire Base Crew ne Leone Island.

Owoolugambo waffe atugambye nti bw’aba ayogera ku myuziki we okugaana, yeekwasa effutwa, ettima, enkwe n’obunnanfuusi obuli mu kisaawe ky’okuyimba ng’abamu ku bayimbi abanene batuuka n’okugulirira ennyimba ze zireme kukubibwa ku leediyo ne ttivvi bwatyo n’asiraana n’adda mu kyalo.

Agamba nti okumanya ennaku gy’alina eyoza ne lumonde, maama w’abaana bwe yalaba takyalina ssente naye n’amuddukako ekintu ekyamuzza emabega. Yategeezezza nti kati azze engulu era yamaze dda okukwata ennyimba ze ku lutambi.

Yalutuumye ‘Wankyusa’ okuli ennyimba 13. Kuliko n’olulala oluyitibwa ‘Anataliya’.

Alina n’ekibiina kye yatuumye ‘Spear Dem Crew. Ennyimba ezaamutunda kuliko: Kikiri kika, Ekikompola ne Muliro muliro.