David Lutalo oluyimba lwa ''Nkwagalira ddala'' alutongoleza Bungereza

OMUYIMBI David Lutalo musanyusa w’abamaama ayongedde okulaga amaanyi.

Afulumizza oluyimba lw’omukwano olulala ng’akakasa omuwala gwe yakwanye nga bw’amwagalira ddala.

Alutuumye ‘Nkwagalira ddala’. Lutalo abadde y’akafulumya oluyimba luno n’afuna ddiiru y’okugenda e Bungereza gy’agenda okukubira omuziki nga April 28, era bano be bagenda okusooka okuloza ku luyimba luno ekyaleetedde n’abamu okugamba nti gy’agenda okulotongoleza.

Eno agenda kubeerayo n’abayimbi abalala bakafulu mu kukuba ennyimba z’omukwano okuli: Rema Namakula, Geo Steady n’omugole Catherine Kusaasira.

Bagenda kuyimbira mu kivvulu ekituumiddwa ‘‘Bannyabo Wooloolo Concert’’ ekigenda okubeera ku Royal Regency Manor Park. Aba Richmond Promoz be babataddemu ssente.