Ebyange ne Grace Khan bya ddala naye eby'olubuto nedda

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Kojja akawaηηamudde bw'agambye nti ekituufu ye maneja wa Grace Khan mu byonna.

Bino obwedda abyogera bw'alya ebigambo bye ate olumala n'akkiriza nti owange akaana ako nze ..... Kyokka bwe twamubuuzizza oba n'olubuto omuyimbi we lw'alina lulwe yatiddemu oluvannyuma n'agamba nti nedda, omwana oyo tasobola kufuna lubuto okuggyako.... oba yabadde ategeeza ki? Nze naawe.

Kiddiridde Grace Khan okutegekera maneja we akabaga k'amazaalibwa ku Lwokusatu e Wakaliga ne beekola obusolosolo omwabadde okwenyiga omunyigo, okwenywegera n'okukaaba n'ekyaddiridde Grace Khan kutegeeza banywanyi be abaabaddewo nti ekituufu Kojja Kitonsa amwagala era tamanyi kyayinza kumusasula.