'Gy'otega amaggwa...'

ABAAGEREESA nti gy’otega amaggwa gye bakuzza anti lutuukira bulungi ku ba KCCA bano abaagudde mu kinnya kyabwe.

 OMUVUBUKA ono mikolo gy’essomero lya Gangu ku lw’e Busaabala nga baggulawo omuzikiti gye buvuddeko, yalaze omukwano gw’alina ku nnyama buli omu n’asiima. Alina engeri gye yakkakkanye ku ggumba n’aliraga ky’alinawo ate nga musanyufu olwo n’aleka abalabi nga bakakasizza nti kituufu, ennyama agitegeera.

Bano bulijjo babalabula ku binnya ebiri mu nguudo z'omu Kampala naye nga beesuulirayo gwa nnagamba naye ku mulundi guno Katonda yabavuddemu era ekimu ku binnya byabwe ebya kazambi bye baagaana okubikka be bakyegwiiriddemu.

Entambula yayonoonese okumala akaseera naye ng'abasuubuzi bawoza kimu nti, Katonda azzeemu essaala zaabwe. Bino byabaddewo ku Lwokubiri akawungeezi mu Kisenyi mu Kampala.

Abasuubuzi bagamba nti ekinnya kino kiwezezza kumpi mwaka mulamba nga tekiriiko kibikkako wadde nga bakoze kyonna ekisoboka okutuukirira be kikwatako mu KCCA okukitereeza wabula ne beerema.

Moses Kabali omu ku basuubuzi mu Kisenyi yagambye nti abantu bangi bagudde mu kinnya kino ne bamenyeka n'emmotoka ezimu nga ziremeramu naye nga aba KCCA tebeefiirayo.

Twabadde tetusobola kubakkiriza KCCA kuggyawo mmotoka eno nga tebamaze kututegeeza lwe banaatufunira kisaanikira era baamaze kubakakasa olwo ne babaleka ne bavaayo.