Halimah Namakula amenye Likodi eyokkola birthday n'ayogera emyaka gye emituufu

Halimah Namakula amenye Likodi eyokkola birthday n'ayogera emyaka gye emituufu

AMIZE ppini n'atukuba akavvulu k'emyaka, Mummy Halima Namakula weebale kukula n'okwevaamu ng'omukyala n'oyogera amazima.' Ebyo bye bimu ku bigambo abamu ku bagenyi ng'abasinga bayimbi ne bannakatemba ba Ebinies bye baasoose okwogera ku muyimbi Halima Namakula ku kabaga ke ng'ajaguza okuweza emyaka 60.

Kaabadde Kansanga ku Lwokusatu okutandika essaawa 2:00 ez'ekiro ne kakoma ku ssaawa 8:00 ogw'ekiro nga buli muyimbi amwogerako ate bw'amala n'amuyimbira ekyatwalirizza obudde.

Baabadde bangi na ddala omugigi omuto okuviira ddala ku bawala be, Racheal K (owookubiri ku ddyo) ne Rema Namakula (owookuna ku ddyo)gwe yeenyumirizzaamu obutamuswaza ng'alaga omusajja Dr. Hamza Sebunya.

Abalala Faridah Ndausi, Hanson Baliruno, Geosteady (ku kkono), Nina Roze, Ameria Nambala, Victor Kamenyo, Lydia Jazmine (asooka ku ddyo), Fille, B2C, Weasel ne Pallaso nga ne maama waabwe Prossy Mayanja yabaddewo.

Abalala abeebazizza Halima olw'okuyita mu mikono gye ye Joel Isabirye gwe yawa omulimu bwe yatandika leediyo ya Beat, A Pass, bannakatemba ba Ebonies abaakulembeddwa Dr. Bbosa. Halima yazannyirako mu Ebonies mu muzannyo gwa That's life mwattu bwe yali yaakakomawo okuva mu Amerika.

Y'omu ku baasooka okutandika zi situdiyo ez'amaanyi nga yakola eya No End Entertainment omwakolebwa ennyimba nga Dipo Naziggala olwa Paul Kafeero, Kiki ye onvuma olwa Mariam Ndagire, Bampasudde olwa Fiina Mugerwa, ennyimba za Grace Nakimera n'endala.

Halima yakubirizza abayimbi obuteewulira kubanga abantu be beewulirirako ate be bababeezaawo. Yawunzise agamba nti ekimuwangaazizza ng'alabika bulungi buteewa situleesi.