Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu bye boogera.

Alina omukolo gwe yabaddeko n'ayingirawo nga yeesaze akawero akaanuusizza abasajja ensingo.

Kaabadde kamutippye ng'akabina kagenda kasagala ng'ate kalina engeri gye kamukuttemu mu maaso ng'amba ku ‘senta boloti' wamma ne nkulabira.

Era owoolugambo waffe atugambye nti obwedda buli musajja gwayitako ng'akoona ku munne kyokka ng'abalala beewunaganya n'okwekuba obwama nga beebuuza omwana kyabakoze.

Kyokka waliwo abaamusiimye okwambala ebimunyumira.