Ono si katono 'abasibe' bamwewagguleko

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi Pier e Munyonyo.

Wabula mu kusanyuka ennyo ng'abuukabuuka, amabeere nago katono geewaggule gave mu busibe (mu kaleega) geetaaye.

Wabula abaamulabyeko baasigadde beewuunya engeri gy'acamuka n'alemwa okufuga ebimu ku bimuli ku mubiri.

Wano abamu we baayogeredde nti kirabika yabadde ayiyeemu akabisi nga ke kamucamudde.