Kyokka Golola Moses of Uganda!

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala ali mu kadaali ne beebuuza gye baabagattidde mu bufumbo.

Kyazuuliddwa nti yabadde n'omuyimbi Vilan Nabukeera ate olwo ono ne bamusaasira nti ayolekedde olusozi ggambalagala okufumba ewa Golola.

Ow'olugambo waffe yakizudde nga bano baabadde ku Freedom City oluvannyuma ne bagenda n'e Lubaga ku Lutikko nga bakola vidiyo y'oluyimba lw'omuyimbi ono olupya olumanyiddwa nga "NJI".

Oluyimba luno lwa mukwano era bwe twabuuzizza Vilan yategeezezza abawagizi nti balinde oluyimba luno kubanga Golola yataddemu ebinnonnoggo byonna ebirunyumisizza bwe yabadde awaana omwagalwa we.