Ebizibu bya MC Kats tebiggwa

ENSONGA za MC Kats bba w’omuyimbi Fille Mutoni eyakwatiddwa akatambi omuwala Sharon Faith poliisi ezisindise mu kakiiko akalondoola eby’obuseegu zinoonyerezebweko.

 MC Kats ne Faith.

Ebizibu bya Edwin Katamba (MC Kats) bizze byepanga nga byatandika na kwerangirira nga bw'alina akawuka akaleeta siriimu mu December wa 2019 abamu ne bagamba nti osanga yali afunyeemu katwewungu.

Ku Lwomukaaga, Kats yategeezezza nti tagwangako ddalu ng'abamu bwe balowooza wabula n'agamba nti bwe yali e London ekya Bungereza n'ayasanguza nti mulwadde ate ng'alina n'obulwadde bwa lubyamira, yatwalibwa mu ddwaaliro okujjanjabwa.

Naye abantu bwe baawulira nti ali mu ddwaaliro ne bakimusibako nti agudde n'eddalu n'atwalibwa mu malwaliro g'eyo agakola nga Butabika.

Mu kadde ke kamu, abantu baalowooza nti ekyo kyakuba wala mukyala we, Fille eyayimba "Abasajja bonna bafaanagana, I don't know why' naye ne bakimussaako nti kyamuyisa bubi obwongo.

Byabadde bikyali awo akatambi ne kasaasaanira ku mikutu egy'enjawulo ng'omuwala Faith Ntaborwa yeekwata akatambi nga bwe yeewaana nga bw'ali n'omuntu we Kats.

Akatambi kalaga Kats ng'agudde mu ntebe ennene akooyeemu ate ng'omuwala alaga obupiira obukozese bw'agamba nti bwe baakozesezza.

Kino kyalowooz- esezza abantu nti baabad- de bava mu muzannyo gw'abakulu naye tewali yategedde kigendererwa kya Faith.

Kats bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga z'akatambi kano, yakakkirizza naye n'agamba nga bw'atayagala kukoogerako.

 

Ate Faith bwe yabuuziddwa ku nsonga y'emu, yasoose kutegeeza nga bw'alina omuntu omulala gw'abadde ayogera naye n'asaba tumuweemu eddakiika 30 tuddemu tumukubire kyokka bwe twazzeemu okumukubira essimu yagiwadde omuntu omulala eyatugambye nti akyalina bakasitoma b'akolako.

Okusinziira ku bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe oluvannyuma lw'okufulumya akatambi, kiteeberezebwa okuba nga yafunyeemu obutakkaanya ne Kats ng'ayagala kukakasa nsi nti babadde n'enkolagana ey'enjawulo kubanga alina we yawandiise ng'agamba nti "Kats kkiriza twali ffembi era twanyumirwa" ate bw'amala n'agattako nti "nze sifaayo ku bantu bye boogera ani atakimanyi nti Kats tayisa sikaati" era omuwala ono alina n'ebifaananyi nga bali bombi

POLIISI EYOGEDDE

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza Bukedde nti, essaawa eno tebalaba kibi kiri mu katambi kubanga tekalaga bya kaboozi ka kikulu, temuli bigambo biwemula okugyako okulaga kondomu enkozese naye ng'ekikolwa tekirabika.

Agamba nti bagenda kwebuuza ku kakiiko ka Anti pornographic committee akalondoola eby'obuseegu bwe kanaalaga nti Faith yazizza omusango okusinziira ku katambi akasaasaana mu ggwanga ng'oluyiira, omuwala oyo agenda kukwatibwa.

Kigambibwa nti omuwala akatambi yakakwatira mu kisenge kya Kats nga Fille taliiwo.

Waliwo n'abagamba nti Faith alina oluganda ku Fille era nti yali amuleeseeko waka.

Okuva akatambi lwe kaatandise okusaasaana ku Lwokubiri, waliwo n'abaategeezezza nti Faith muwala w'omu ku basumba b'abalokole mu Kampala.

Kats mukozi wa ttivvi, akola obwa MC, pulomoota w'abayimbi ate nga maneja waabwe (maneja wa Fille) n'ebintu ebirala.