Kiki ekitabudde Nadia Tania ne Daddy Andre

MWANAMUWALA omupya mu nsiike y’okuyimba, Nadia Tania (ku ddyo) ayogedde ebyama! Alumirizza pulodyusa w’ennyimba ate nga muyimbi, Daddy Andre (mu katono) okugaana okumaliriza oluyimba lwe kubanga agaanyi okumuloza ku luwombo lwe.

MWANAMUWALA omupya mu nsiike y'okuyimba, Nadia Tania (ku ddyo) ayogedde ebyama! Alumirizza pulodyusa w'ennyimba ate nga muyimbi, Daddy Andre (mu katono) okugaana okumaliriza oluyimba lwe kubanga agaanyi okumuloza ku luwombo lwe.

Ono agamba baakola oluyimba bonna kyokka bwe baatuuka mu kaseera k'okukwata vidiyo, Daddy Andre n'amusaba bagendeko e Namboole wabula omuwala n'agaana.

Nadia yalaze emboozi ye eya WhatsApp gye yali anyumya ne Daddy Andre nga buli lw'amugamba bakole oluyimba amujuliza kimu "Baby jangu ondabeko". "Daddy Andre simusabangako collabo wabula nagenda okuggyayo oluyimba gye nnali ndukoledde nga mulimu eddoboozi lye.

Kino kyansanyusa ng'omuyimbi omuto kubanga Daddy Andre muyimbi munene," Nadia bw'annyonnyola.

Nadia agamba nti yasasula buli kimu nga Daddy Andre bwe yamugamba naye yagaana okugenda bakwate vidiyo.

Daddy Andre yategeezezza nti teyeewuunya omuwala oyo okwogera bwatyo kubanga muyimbi muto ng'anoonya bw'amanyika mu bantu.

Yasuubizza okumuwa ennamba ya maneja we gw'aba ayogera naye alabe nga bakola oluyimba luggwe.