Kyama ki ekiri mu bbulifukkeesi ya Kayemba?

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky'omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Ensawo eno eringa bbuliffukkeesi ng'eri mu langi eya kiragala n'enzirugavu, bw'aba agyogerako agamba nti yamuweebwa Jjajja we Edward Lutwama Ssettaala akuumiremu ebintu bye eby'omugaso ng'ebyapa mpozzi n'okugikwata ng'agenda ku nsonga enkulu ennyo nga guno gwe yabaddeko ng'agenda okwewandiisa.

Omu ku banywanyi ba Kayemba atugambye nti ne bw'aba agenda emitala w'amayanja okukutula ddiiru z'abasambi b'omupiira eno ensawo gyatambulizaamu ebiwandiiko kyokka nabo tebannaba kutegeera kyama kigirimu.

Bwe twayogeddeko ne Kayemba yagambye nti eno bbaaga nga bwatera okugiyita bwagikwata talemererwa ddiiru ate ne ssente azifuna era ke yagenze nayo e Bukomansimbi okwewandiisa, akalulu yamaze dda okukawuuta.

Ono avuganyiza ku kkaadi ya NUP. Attunka ne Deogratious Kiyingi owa DP ne Bashir Ssemakula owa NRM.