King Roberto afulumizza vidiyo y'oluyimba lwe olupya ne yewaana

"Myuziki ng'oggyeeko okuba nti kitone kyange, ebiseera ebisinga mmukola ku lwa Katonda ne bajjajange abatambulira ku mulamwa g'obwegassi.

Nange mu njogera ennyangu oyinza okumpita eddoboozi lya Africa erikubiriza abantu okwegatta n'okuba obumu".

Bw'atyo omuyimbi Robert Ngam amanyiddwa nga King Roberto enzaalwa ya Cameroon naye ng'alina obutuuze kuno bw'atandise ng'ayogera ku luyimba lwe olupya ‘Stand up Africa' mw'ayise okukunga abantu okukuuma emirembe, okwegatta n'okukolera awamu nga abakulembeze ba Afrika.

Olunaku lwa leero lwatadde vidiyo y'oluyimba lwe luno ne yeewaana nti "luno lwenkubye lwa mulembe" agasseeko nti lumututteko obukadde bw'ensimbi obuwerako kyokka kino akikoze ng'oggyeeko okuba nti lusomesa naye ayagala n'abalaba olutambi banyumirwe ate nga n'eby'obuwangwa tabisuuliridde.

Ono agamba ekirooto kye kulaba ng'abantu ku lukalu lwa Afrika bali bumu era bakolagana kuba enjawukana mu mawanga ne ddini tezirimu kalungi.

Luno alugasse ku nnyimba enddala z'alina okuli ne "Sevo Sevo" lwe yakuba gyebuvuddeko  oluwaana pulezidenti Museveni n'ebirungi byakoledde Uganda era n'basaba abantu okumusiima.