Abalimi b'e Kyesiiga babawadde ebigimusa n'eddagala ly'ebirime

ABALIMI mu Ggombolola y’e Kyesiiga mu disitulikiti y’e Masaka beeyamye okutumbula ebyobulimi oluvannyuma lw’abakulira enteekateeka ya NAADS mu ggombolola eno okubagabira ebigimusa n’eddagala eritta obuwuka mu mmwaanyi n’ebitooke mu kaweefube w’okwongera ku bikungulwa beegobeko obwavu.

Bya John Bosco Mulyowa

ABALIMI mu Ggombolola y’e Kyesiiga mu disitulikiti y’e Masaka beeyamye okutumbula ebyobulimi oluvannyuma lw’abakulira
enteekateeka ya NAADS mu ggombolola eno okubagabira ebigimusa n’eddagala eritta obuwuka mu mmwaanyi n’ebitooke mu
kaweefube w’okwongera ku bikungulwa beegobeko obwavu.

Ebigimusa n’eddagala byabakwasiddwa akakulira ebya NAADS mu ggombolola eno Muky. Patricia Nakatudde eyabadde ne ssentebe w’eggombolola eno, Abdu Nsubuga ne kansala Mudashiru Bbaale. Abalimi 100 be baawereddwa ebigimusa
n’eddagala okubikozesa mu nnimiro zaabwe bongere ku mutindo gw’ebyo bye bakungula. Abagabanye ku bigimusa n’eddagala baavudde mu miruka okuli Bbuuliro, Kyesiiga, Bugere ne Kamukalo.

Abalimi baasiimye Gav’t. okubawa ebintu bino kyokka ne basaba minisitule y’ebyobulimi enoonyereze ku ddagala erirwanyisa obuwuka obukaza ebitooke obweyongedde mu Ggombolola y’e Kyesiiga. Baagambye nti singa tewaba kyamaanyi kikolebwa ettooke lyandifuuka olufumo mu ggombolola eno.

Muky. Nakatudde yabasabye okukozesa enkola ey’ekinnansi ey’okutema ebitooke ebikwaatiddwa era ne babiziika oba okubyokya okwongera okuziyiza ensaasaana y’obulwadde buno obumaamidde eggombolola yonna.

Abalimi b’e Kyesiiga babawadde ebigimusa n’eddagala ly’ebirime