Abakungubazi balese omulambo mu kidaala ne balumba poliisi

ABOOLUGANDA ababadde bategeka okuziika munnaabwe bakusazizzaamu ne bawaliriza poliisi ekwate abantu bonna abaatwalidde amateeka mu ngalo ne bamukuba emiggo egyamuviiridedeko okufa.Bya Ssennabulya Baagalayina ne John Bosco Sseruwu
ABOOLUGANDA ababadde bategeka okuziika munnaabwe bakusazizzaamu ne bawaliriza poliisi ekwate abantu bonna abaatwalidde amateeka mu ngalo ne bamukuba emiggo egyamuviiridedeko okufa.

Okuziika kwabadde kutegekeddwa ku Lwokubiri mu maka g'omugenzi Yokaana Ddundu ku kyalo Kyaggunda mu Ggombolola y'e Bukulula mu disitulikiti y'e Kalungu kyokka abekika ne bakugaana ku ssaawa envannyuma.

Ekyatabudde abekika abatabeera mu kitundu kwe kufuna amawulire nti omuntu waabwe Robert Ssebalu yakubiddwa miggo mu kiro ekyakeesezza Mmande n'afa nga poliisi yaakamutuusa mu ddwaaliro e Masaka.

Kigambibwa nti Ssebalu abadde yaakava mu kkomera gye yaggalirwa olw'obutakkaanya bwe yafuna n'omutuuze gwe yali apangisizza emmwaanyi ze nga mu kkomera yayimbuddwaayo kuLwokuna lwa wiiki ewedde ate n'attibwa ku Mmande.

Hajji Abas Mubiru n'abekika abalala okuli Hajati Joweria Mubiru, Piragia Namugabo.

Yayeri Nansubuga, Namukasa Kisakyamaria, Rebecca Nakyeyune n'abalala baalaze obutali bumativu bwabwe eri ow'okuttibwa kw'omuntu waabwe gye kukwatiddwaamu.

Bagamba nti beewuunyizza poliisi mu kabuga k'e Mukoko okuggyawo omuntu atwaliddwako amateeka mu ngalo n'oluvannyuma n'afa ne batabaako muntu yenna gwe bakwata nti ne bwe baabeekubyeko bazze mu kubabuzaabuza.

Ensonga baasazeewo ne bazongerayo ew'omuduumizi wa Poliisi mu Kalungu SP martin Okoyo n'akulira bambega Ritha Musemererwe abaasitukiddemu ne bagenda ku kyalo ne bakwata omutuuze
Josephine Nantale ne mutabani we gattako muliraanwa we Mwanje nga bwe bayigga n'abalala.

Nantale mu kwewozaako yategeezezza nti ekiro mu ttumbi yawulira omuntu akonkona oluggi n'akuba enduulu ng'amuyita mubbi azze okubba embuzi ze kyokka abantu abaamuduukirira ne bamukkakkanako ne bamukuba.

Ye Yudaaya Nakato agamba nti nga bamaze okulya ekyemisana ku Ssande, Ssebalu yabalekawo n'agenda mu maduuka g'e Kabaale okufuna ssente ze okuva ku ssimu nti baddamu okumumanya
enkeera ku Mmande nti 'akubiddwa bubi nnyo.

DPC Okoyo abakwate yabatutte Kalungu ayongere okubaggyamu obujulizi ku bantu abeetaba mu kikolwa ky'okutwalira amateeka mu ngalo era abekika bakyagenda mu maaso n'okuwera nti okukakkana emitima ng'abaakubye omuntu waabwe n'okumutta bakwatiddwa.

Abakungubazi balese omulambo mu kidaala ne balumba poliisi