Ssentebe awabudde ab'e Kasambya

SSENTEBE w’e Mubende, Kibuuka Amooti alabudde abatuuze b’e Kasambya obutapapira kya kusaba disitulikiti kubanga ensonga eno erina kuyita mu mitendera egyetaagisa.

Bya DICKSON KULUMBA

SSENTEBE w’e Mubende, Kibuuka Amooti alabudde abatuuze b’e Kasambya obutapapira kya kusaba disitulikiti kubanga ensonga eno erina kuyita mu mitendera egyetaagisa.

“Bangi ku mmwe mwatandise dda okwejaga ku bikwatagana ne disitulikiti, naye mbawa amagezi mukindekere kubanga nze nnina ekisumuluzo ekibawa disitulikiti n’obutagibawa,” Kibuuka bwe yategeezezza.

N’agattako nti enteekateeka y’ebitundu bino Kasambya ne Kassanda okufuuka disitulikiti ezeetongodde okuva ku Mubende zigenda mu maaso ng’ebiwandiiko byonna ebikwata ku Kassanda ne minisita Adolf Mwesigye owa Gavumenti ez’ebitundu, yabisiima wabula akyalina akabuuza n’ebye Kasambya.

“Nnali ne minisita e Jinja ne twogera ku kusaba kwammwe n’antegeeza nti ebiwandiiko bya Kassanda birungi wabula eby’e Kasambya birina okutereezebwa.

N’olwensonga eyo mbasaba mundekere omwana wange ono kuba muyinza okuntataaganya ne munzaaza omwana ow’ekitundu,” bwe yagasseeko.

Kibuuka bino yabyogedde asisinkanye abatuuze b’eggombolola y’e Kasambya ku kitebe ky’eggombolola eno wiiki ewedde. Okwogera bw’ati kiddiridde abagenda bakakasa abantu nga disitulikiti bw’ejja amangu era n’abalala ne batandika okwekwata ebifo.

Ssentebe w’eggombolola eno, George William Ssentongo yategeezezza nti enkola za Gavumenti zitambula bulungi wabula ekizibu kiri mu nkola ya NAADS.

Kibuuka yamuwabudde nti atereeze obuzibu bwonna obuli mu ggombolola eno singa ekitundu kino kyakufuuka disitulikiti. Abatuuze bakaabidde ssentebe ebizibu okuli enguudo embi okugeza oluva e Bagezza okudda e Kabamba.

Ssentebe awabudde ab’e Kasambya