Aba NRM e Mityana basembye Museveni

BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti y’e Mityana bawagidde Pulezidenti Museveni okwesimbawo nga tavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2016.



Bya Samuel Balaga dde, Luke Kagiri ne Kizito Musoke

BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti y’e Mityana bawagidde Pulezidenti Museveni okwesimbawo nga tavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2016.

Bino bannakibiina baabituuseeko mu lukiiko olw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno olwatudde ku kitebe ky’eggombolola y’e Malangala ku Mmande nga lwakubiriziddwa omubaka omukyala owa Disitulikiti eno, Silvia Namabidde n’omubaka wa Busujju, Vincent Nyanzi ssaako abakulembeze b’ekibiina okuva ku byalo okutuuka ku disitulikiti.

Nyanzi era nga ye minisita omubeezi mu ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti yasabye bannakibiina okwanja ebintu ebiremye ekibiina kya NRM okukola basobola okubituusa ku bekikwatako bisalirwe amagezi.

Ate mu ggombolola y’e Butayunja abaayo nabo baasembye Museveni okwesimbawo nga tavuganyiziddwa ng’eno olukung’aana era lwategekeddwa Minisita Nyanzi n’omubaka Namabidde wiiki ewedde.

Abatuuze baategeezezza nti singa Museveni avuganyizibwa, kyandireetera abawagizi b’ekibiina okwetemamu ennyo mu kamyufu ekiyinza okuwa abavuganya NRM omukisa okubawangula mu 2016.

Ate abakulembeze b’abavubuka okuva mu disitulikiti y’e Mityana, Mubende, Kiboga ne Kyankwanzi nabo baasazeewo okuwagira pulezidenti Museveni addemu okwesimbawo nga tavuganyiziddwa mu kulonda kuno.

Baabadde mu lukung’aana ku Enro Hotel mu Mityana nga lwakubiriziddwa omubaka w’abavubuka mu Buganda, Patrick Nakabaale.

Nakabaale yasomesezza abavubuka ku nkola za NRM n’ebiteeso ebyatuukibwako ababaka ba palamenti aba NRM mu lukung’ana olwabadde e Kyankwanzi gye buvuddeko.

Omubaka Namabidde olukung’aana luno naye yalubaddeko, n’akunga abavubuka okubeera abeesimbu era basigale nga bawagira NRM nga tebayugaayuga.

Aba NRM e Mityana basembye Museveni