Omuyindi ayagala bamwongeze ku capati

"SSEBO tonseera yongerako ku mubiri gwa chapatti ndaba ntono bulala ate enjala ennuma. Owulidde ssebo kola kye ngambye oba sikyo ngule awalala"

Omuyindi ku mudaala gwa capati.

Bya Moses Lemisa 

"SSEBO tonseera yongerako ku mubiri gwa  chapatti ndaba  ntono bulala  ate enjala ennuma. Owulidde ssebo kola kye ngambye oba sikyo ngule awalala"

Bino by'ebigambo ebyayogeddwa Omuyindi eyasangiddwa ku muddaala gwa Chapatti ku Kaleerwe ku kkubo lya Muswayiri, omukulu ono wabaaddewo chapatti eziwedde okusiikibwa n'azigaana ng'agamba omubiri gwazo mutono yalagidde azisiika okumukolera eyiiye ng'omubiri munene ,

Abaalabye omusajja ono baamwewuunyizza nga bagamba nti babadde bamanyi nti ekikomando kiriibwa bali mu mbeera mbi abensawo ezaalagaya.