Bagguddewo ekifo we basibira abato e Katosi

Bya ERIC YIGA

ABATUUZE ku  mwalo gw'e Katosi mu  disitulikiti y'e Mukono beekozeemu  omulimu  mu nkola  ya bulungi  bwa nsi  ne bazimba  akaduukulu k'abaana abali  wansi  w'emyaka  18.

Bakikoze mu nkola  y'okwongera  okulwanyisa  obumenyi bw'amateeka  ate  n'okukuuma  eddembe  ly'abasibe nga  tebafuutikiddwa mu buddukulu.

Okusinziira  ku  ssentebe  w'ekitundu  kino Mayinja Walugembe ategezeza  ng'abatuuze  bwe beekozemu  omulimu  okukunganya ebikozesebwa  mu kuzimba ebikozeseddwa mu mulimu  guno gumazeewo 70.

Atwala poliisi y'ekitundu kino,  Fauz Cox  Ali ategeezezza  nga  kino  ekikoleddwa  bwe kigendereddwamu  okutumbula
omutindo  gw'ebyobuyonjo  mu  makomera ate nga  ly'ekkomera  ly'abato erisookedde ddala  e  Mukono.

Bwabadde  aggulawo  akaddukulu  kano atwala poliisi ya Kampala  East Michel  Musani atenderezza   enkolagna  ya  poliisi n'omuntu  wa bulijjo  mu kulwanyisa obumenyi  bw'amateeka  mu  kitundu.