Tetujja kukkiriza kutugoba ku ttaka lyaffe - Batuuze

Abatuuze nga batadde emisanvu mu luguudo.

ABATUUZE ku byalo bina okuli; Kasanje, Bbuuliro, Bugere ne Kitunga mu ggombolola y'e Kyesiiga mu disitulikiti y'e Masaka bavudde mu mbeera ne beekalakaasa nga bakutte emiggo n'amajambiya n'okussa emisanvu mu luguudo nga bawakanya omugagga okubagoba mu bibanja byabwe bye bamazeeko emyaka egisoba mu 40.

Kigambibwa nti ettaka lino liriko abantu abasoba mu 400 nga lya yiika 320. Lyali lya Bayindi abaali balimirako ebikajjo ne bagobebwa Idi Amin mu myaka gy'e 70 ettaka ne litwalibwa abantu ab'enjawulo.

Abatuuze bagamba nti beewuunyizza omugagga Joseph Bukenya abeera e Masaka okuvaayo n'ategeeza ng'ettaka bwe liri erirye. Waayitawo akaseera katono ne bafuna amawulire nga bwe yaliguzizza Mentediyo Kasujja nga ye yatutte abapunta
okulipima nga yabadde n'abantu abaakoonye amayumba ne bagasuula ku ttaka
n'okusaawa ebirime.

Kino kyaggye ababadde babeera ku ttaka lino mu mbeera ne baziba oluguudo oluva e
Masaka okudda ku ggombolola y'e Kyesiiga ne bakwata emiggo, amajambiya n'embazzi nga bwe bawera okufaafaagana n'ababagoba ku ttaka.

Abaserikale okuva ku poliisi y'e Kyesiiga baayanguye okutuuka ne bakkakkanya embeera.
Kyokka abatuuze baaweze nga bwe batajja kukkiriza kubagoba ku ttaka ne basaba aboobuyinza okuyingira mu nsonga zaabwe.