Poliisi tugiragidde kukuba kutta- Gen. Tumwine

Gen. Tumwine

Minisita w'obutebenkevu Gen, Elly Tumwine alabudde abeekalakaasi n'akiggumiza nti; Poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe biweereddwa obuyinza okukuba amasasi n'okutta omuntu yenna asangibwa nga yeetabye mu kwekalakaasa.

Tumwine eyabadde omukambwe yagambye nti bakizudde ng'abantu abeenyigidde mu katabangula eggwanga ku Lwokusatu n'Olwokuna baatendekebwa era balina obukodyo bwonna mu kutabangula ebyokwerinda by'eggwanga.
"Tetugenda kukkiriza bantu basirusiru kutabangula ggwanga lino emirembe, gye lirimu givudde ewala nga kati lye yagaza buli muntu nga n'amawanga amalala abaayo baddukira wano okufuna emirembe, " Tumwine bwe yategeezezza n'awera nti beetegefu okwangaanga bonna abeenyigira mu kuleetawo obutabanguko.

Tumwine yagambye nti, abakulembeddemu okwekalakaasa kuno baludde nga
batendekebwa kubanga engeri gye baakoze ekintu yabadde nzibu kyokka ab'ebyokwerinda n'ebakkakkanya.

"Okusibwa kw'omuntu omu tekuyinza kuleetawo butabanguko mu buli kitundu kya ggwanga, bano baludde nga beetegeka era batusanze tulagayizza, naye ku luno batuguddeko," bwatyo bwe yannyonnyodde.

Bino yabyogeredde mu lukungaaana lw'abamawulire ku kitebe kya Gavumenti
ekya Media Center mu Kampala ku Lwokutaano.

Yagambye nti abeekyokwerinda bazudde nti amawanga g'ebweru gassa ssente mu baakuliddemu okwekalakaasa kuno okwalese abantu abasoba mu 28 nga bafudde nga n'abalala banyiga biwundu.

Tumwine era yakikkaatiriza nti mu kiseera kino ng'abyebyokweinda tebejjusa kwabo
abafudde kubanga tebamanyi ani yabasse nga n'abamu kisuubirwa nti baabadde bakuliddemu okwekalala kuno.

Mu kunoonyereza ab'ebyokwerinda kwe baliko , Tumwine yagambye nti baazudde
ng'abamu ku bannakibiina kya NUP balimu embeera z'ekiyeekera n'agamba nti tebayinza kukkiriza ggwanga kugenda mu mikono gy'abantu bwe batyo.