Ebya Bobi bituuse mu ofiisi y'ekibiina ky'amawanga amagatte

Stephanie

ENSONGA z'okukwata Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) zituuse mu ofiisi ya Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagatte mu kibuga New York ekya Amerika.

Omwogezi wa ofi isi eyo, Stephane Dujarric yasabye Bannayuganda okubeera abakkakkamu nga balaga obutali bumativu mu kwekalakaasa kwabwe n'ajjukiza Gavumenti n'ebitongole ebikuumaddembe okukwata obulungi abeekalakaasi.

Ku lwa Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagatte, António Guterres, Stephane yagambye nti balondoola ebiri mu Uganda n'asaba buli ludda olutakkaanya na
lunnaalwo okukuuma eddembe.

EKITEBE KYA AMERIKA MU UGANDA NAKYO KYOGEDDE
Ekitongole kya Amerika mu Uganda nakyo kyafulumizza ekiwandiiko nga kisaba abatakkaanya bakkaanye ku lw'obulungi bw'eggwanga.

Kyalaze obwennyamivu olw'abaafi iridde mu kwekalakaasa okwabalukawo ku Lwokusatu nga Bobi Wine akwatiddwa e Luuka.

OWA BUNGEREZA AWADDE AMAGEZI
Omubaka wa Palamenti ya Bungereza, Dr. Paul Williams aludde ng'agoberera ebikwata ku Uganda naye yawadde amagezi ku bya Bobi Wine.

Yatadde obubaka ku twitter ng'asaba Bannayuganda abatali bamativu n'ebigenda mu maaso okwekubira enduulu mu ofiisi y'eggwanga lye ekola ku nsonga z'amawanga amalala bafune bw'ebayamba.

Williams amaze ebbanga ng'awa ebirowoozo bye ku bigenda mu maaso mu Uganda, waliwo Bannayuganda abazze bamulagira aleke kubyeyingizaamu kubanga okuva
Uganda lwe yafuna obwetwaze nga October 9, 1962 yafuuka ggwanga eryetongodde.

Bobi Wine eggulo yayimbuddwa . Abadde avunaanibwa ogw'okukuηηaanya abantu
abasukka mu 200 mu nkuηηaana z'asabiramu akalulu k'Obwapulezidenti ekimenya amateeka ga minisitule y'ebyobulamu okulwanyisa COVID19.