Palamenti evumiridde effujjo eryetobese mu kampeyini

Sipiika Kadaga

PALAMENTI eteesezza ku mbeera eriwo mu ggwanga ery'okwekalakaasa n'okukwatibwa kw'abamu ku bannabyabufuzi, ababaka ne bavumirira ebikolwa by'okulinnyirira eddembe ly'obuntu ebyayoleseddwa ebitongole ebikuumaddembe.

Ababaka era bavumiridde n'ebikolwa by'abantu okukola effujjo n'okwenyigira mu bikolwa ebisosonkereza abakuumadembe.

Bino byabadde mu lutuula olwakubiriziddwa Sipiika Rebecca Kadaga ababaka ab'enjawulo mwe baalagidde obwennyamivu olw'ebitongole ebikuumaddembe
gye byatulugunyizzaamu abantu abeekalakaasizza oluvannyuma lw'okukwata Kyagulanyi.

Sipiika Kadaga yasabye abakuumaddembe bulijjo bwe baba bakwasisa amateeka okugoberera amateeka agabafuga baleme ate nabo kumenya mateeka.

Yasabye abavuganya okukoma ku bawagizi baabwe baleme kukola ffujjo.
Poliisi yagisabye ereme kukozesa kya bulwadde bwa Corona ng'ekyekwaso okulinnyirira eddembe ly'obuntu.

Abdulatif Sebaggala (Kawempe North) yawakanyizza omuwendo gw'abantu abasatu ogwasoose okufulumizibwa poliisi nti be baafiiridde mu kwekalakaasa n'agamba nti mutono nnyo ku kyabaddewo. Yasabye bannaddiini bayingire mu nsonga eno nga tennaba kusamba ddagala.

Asuman Basalirwa (Bugiri munisipaali ) yasabye poliisi eyimbule ababaka okuli; Kyagulanyi ono oluvannyuma yayimbuddwa  ne Mathias Mpuuga kuba mu ndaba ye tebalina musango gwonna gwe bazza.

Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South) eky'okukwata Kyagulanyi
yagambye nti kyabadde tekyetaagisa.

Yeewuunyizza n'engeri abantu gye banoonyamu obululu n'agamba nti eby'obulwadde
balinga abaabivaako edda.

John Baptist Nambeshe (Manjiya) yeewuunyizza ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda aka NRM, Dr. Tanga Odoi gye yaggye amaanyi agagaana Robert Kyagulanyi
okulinnya mu kibuga ky'e Tororo.  Kyagulanyi yakwatibwa ku Lwakusatu bwe yali mu lukungaana e Luuka.

Palamenti yabadde mu lukiiko olw'enjawulo olwatudde okusiima emirimu gy'omugenzi
Rehema Watongola abadde omubaka wa munisipaali y'e Kamuli eyafudde Corona.

Ababaka baayisizza ekiteeso ekisiima omugenzi ng'abadde mwoyo gwa ggwanga, omukozi era ateebalira ng'aweereza abalala.