Eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi asaba buyambi

Katende

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe
ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa okwaliwo ku Lwokusatu basabye gavumenti ebakwasizeeko ku muntu waabwe.

Umar Katende ow'e Mukono ku kyalo Bunyiri mu ggombolola y'e Kyampisi omusuubuzi w'ebibala ku mulyango gw'akatale ka St.Balikuddembe ye yakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi.

Bano nga bakulembeddwaamu muganda we, Dirisa Luttamaguzi ne muwala we Aminah Navvubya baagambye nti okwekalakaasa okwali mu kibuga omuntu waabwe teyakuliimu.

Navvubya eyasangiddwa e Mulago ng'ajjanjaba kitaawe yagambye nti kitaabwe y'abadde
buli kimu. Basabye abasobola okubayamba okuyita ku ssimu zino: 0752107103/0752837881.