Batenderezza maama wa Margaret Zziwa

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba pulojekiti z'abadde atambuza ng'ayamba abantu zireme okuzikirira nga bw'avuddewo, wabula aba ffamire bazitwale mu maaso.

"Maama abadde ne pulojekiti nnyingi omuli eya Kamukamu mu klezia ebadde esondera abaana ssente ez'okubayamba n'endala ez'obugabirizi eziyamba abaana abasoma ze nsaba mwongere okuzitambuza zireme okusaanawo," Faaza Emmanuel Kalema okuva
mu Klezia ya St. Peters e Kanyanya bwe yagambye.

Mmisa ez'enjawulo zaasomeddwa bannaddiini okuva mu St. Peters Church e Kanyanya
n'abalala abaavudde mu Our Lady Help of sick Catholic Parish e Mulago.

Josephine Mugerwa abadde musomesa mu kisomesa kya Mpereerwe ng'abumazeemu emyaka 30. Yafiiridde mu ddwaaliro ly'e Mulago ku Lwomukaaga.

Muky. Margaret Zziwa Babu yagambye nti maama we abadde n'obulwadde bwa
alusa ne aniya.

Andrew Katumba mutabani w'omugenzi yagambye nti maama alese abaana mwenda
n'abazzukulu. Baamuziise Nammere awaaziikibwa bba Charles Mugerwa.