Nnamwandu wa Kibirige Ssebunya aziikiddwa

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka
kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali mulamu okubeera abagumu nti ensonga zigenda kukolebwako.

"Ffenna tukimanyi nti maama waffe yabawa ettaka ng'akyali mulamu. Naffe tetuli babi tugenda kukola ku nsonga eno tugimalirize," Sebunya bwe yategeezezza, mu kusabira
omwoyo gwa muka kitaawe Sarah Violet Nanteza, 75, eyafudde ku oluvannyuma
lw'okulwalira akabanga.

Nanteza y'omu ku bannamwandu b'eyali minisita omubeezi ow'ebyobulimi, omugenzi Kibirige Sebunya.

Sebunya yeebazizza abantu b'ekitundu olw'okulabirira omugenzi. Okusaba kwakulembeddwa Bishop Ivan Lugoloobi owa Revival Christian Ministry e Katalemwa omugenzi gy'abadde asabira. Nanteza yaziikiddwa Katalemwa ku Ssande.