Aba NUP beemulugunya olwa bannaabwe abakwatibwa poliisi

Akabonero ka manvuuli aka NUP akagenda okukozesebwa aba NUP mu kulonda..jpg

AB'EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) balaze obwennyamivu olw'obutali
bwenkanya obugenda mu maaso n'okubakolebwako n'okusingira ddala ku mukulembeze wabwe, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne bannakibiina
abakwatibwa awatali musango mulambulukufu.

Nga basinziira mu lukuηηaana lwa bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Kamwokya, Joel Ssenyonyi omwogezi wa NUP yategeezezza nti newankubadde Kyagulanyi yazzeemu okuwenja akakulu, ab'ebyokwerinda ate batandise okukyukira abantu
abamuyambako nga babakwata ng'abaasembyeyo ye ttiimu ebadde emutegekera mu bifo ebyenjawulo gy'akuba enkuηηaana, abaakwatiddwa okuva mu Amac Suites Hotel e Kasese gye baabadde basuze.

Yagambye nti akabonero k'ekibiina aka manvuuli akabaddewo kabadde ka langi ya bbululu nga kassiddwa ku langi enjeru wabula ng'abakulembeze babadde
bamaze ebbanga nga basaba langi zikyusibwe kassibwe ne mu kyapa okutuusa akakiiko k'ebyokulonda lwe kaakakakasizza.

Ssenyonyi bino yabyogedde ayanjulira Bannayuganda akabonero ka manvuuli eya langi
essatu omuli emmyufu, enjeru ne bbululu akaakakasiddwa akakiiko k'ebyokulonda nga
ke kagenda okukozesebwa ku kakonge k'okulonda ku bantu bonna abeesimbyewo ku ttikiti y'ekibiina kya NUP.

Abaakwatiddwa e Kasese bali bana okuli Warren Akandonda, Jacob Mwesigwa, Abbey Mutebi n'eyategeerekeseeko erya Hassan nga balumiriza aduumira poliisi y'e Kyegegwa ng'ali wamu n'amagye nti baamenye enzigi z'ebisenge bya wooteeri mwe
baabadde basuze ne babakwata ne babaggalira n'okutuusa kati.

Ssenyonyi yayongeddeko nti waliwo ne bannakibiina abalala abagenda bakwatibwa abakuumaddembe abali mu ngoye zaabulijjo buli kiro nga babaggya mu maka gaabwe mu bitundu eby'enjawulo kyokka ng'ebifo gye bakuumirwa tebimanyiddwa.

David Lewis Lubongoya yategeezezza nti bataddewo emmeeza ekwanaganya ensonga
z'eddembe ly'obuntu era buli muntu eyakoseddwa mu ngeri yonna n'abaafi iriddwaako abantu baabwe ba ddembe okubatuukirira.

Yagambye nti bagenda kukuηηanya obujulizi ku beenyigidde mu kumenya amateeka
bavunaanibwe.

Yategeezezza nti baagala okutwala obuyinza bw'eggwanga Uganda nga bayita mu nkola
ey'emirembe y'ensonga lwaki bavumirira ebikolwa byonna eby'effujjo ebikolebwa ku Bannayuganda.

Yategeezezza nti bategese n'abantu ab'enjawulo abagenda okukola kakuyege owa nju ku nju era basuubira kino nakyo kigenda kubayamba okufuna obuwagizi.