Kasikonda amusse ayigga kalulu

Nakibinge

KASIKONDA akutte eyeesimbyewo ng'anoonya akalulu n'aziyira. Amulumye okumala
ennaku nnya ng'assiza ku byuma oluvannyuma n'afa.

Christopher Nakibinge, abadde yeesimbyewo ku bwassentebe bwa LC III e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira ku kaadi ya DP era y'abadde ssentebe wa LCI
mu Bweyogerere Central.

Christopher Mutebi, mutabani w'omugenzi, yategeezezza nti ssentebe yavudde mu kunoonya akalulu wiiki ewedde kasikonda n'amukwata.

Bwe yeeyongedde okusikondoka, n'akaluubirirwa okussa ne bamutwala e Mulago.
Ebbanga ly'amazeeyo abadde assiza ku byuma okutuusa ku Mmande lwe
yafudde.

Mutebi yategeezezza nti kitaawe yasemba okwogera nga yaakalwala n'amulagirira we yali aterese ssente aziggyeyo asasule abaamukubidde ebipande.

Ensonda zaategeezezza nti abasawo baasooka ne bakebera Nakibinge okuzuula oba alina Corona ne basanga nga talina.

Eggulo baamusabidde ku Klezia ya Our Lady ku Kayembe e Bweyogerere.
Bamuziika leero e Kisoga Mukono.

Hussein Wasswa Kaweesi, ssentebe wa DP mu muluka gw'e Kireka yagambye nti
baakumye olumbe ku ofiisi z'ekitebe kya divizoni y'e Bweyogerere ku Mmande okukungubagira omugenzi kyokka ne yennyamira olw'ekifo omugenzi ky'abadde yeesimbyeko okubayita mu ngalo kuba babadde beekakasa okukiwangula.