Nabbi Omukazi ayagala obukadde 700 ku mmaali ya Abizzaayo

Nabbi Omukazi Kayima

OLUTALO lusituse ku byobugagga bya Pasita Augustine Yiga ‘Abizzaayo', Nabbi Omukazi bw'asitudde enkundi ng'ayagala obukadde 730. Alaalise okugenda mu kkooti bwe batazimuwa mu nnaku nnya zokka.

Nabbi Omukazi (Maggie Kayima) nga y'omu ku bannamwandu ba Pasita Yiga, awandiikidde abakulira ttivvi ya ABS ng'ayagala bamusasule obukadde 700 kw'agasse endala obukadde 30 eza balooya zimuliyirirwe olw'okukozesa akalango ke yakola nga tabawadde lukusa.

Ayagala asasulwe na byonna by'azze akolera ttivvi eyo okuva lwe yatandikawo kyokka nga tasasulwa.

Kayima mu bbaluwa gye yawandiikidde aba ABS ng'ayita mu bannamateeka ba Nalukoola, Kakeeto Advocates & Solicitors, aba ttivvi eyo gye baafunye ku Mmande, yategeezezza nti yali omu ku baaleeta ekirowoozo okutandika ttivvi era ne bakigabanako ne Pasita Augustine Yiga (Omugenzi).

Mu bimu ku bye yagikolera mu kusooka ke kalango akagamba nti, ‘Oli mu kulaba Television ya ABS Ekuwummuza ebirowoozo.' Okuva ttivvi lwe yatandika, babadde bakozesa eddoboozi lye nga tebamusasudde ate nga n'olukusa olulikozesa talubawadde. Wano w'asinzidde n'abalagira bakomye okukakozesa.

Entemaatema ya ssente zino;
Ayagala obukadde 600 olw'okukola n'atasasulwa, bongereko obukadde 100 okumuliyirira okufi irizibwa nga bakozesa bye yayiiya, endala obukadde 30 za bannamateeka.

Omugenzi Yiga N'omusika Jjengo

Ekiragiro balina kukituukiriza mu nnaku nnya okuva lwe baafunye ebbaluwa eno era kiggwaako leero.

Nabbi Omukazi yakolanga n'Omugenzi Pasita Yiga ne baawukana kyokka bwe yafudde yakomyewo ne yeetonda.

Okusinziira ku kiraamo Yiga kye yaleka, obuvunaanyizibwa bw'okulabirira ttivvi
buli mu mikono gya Andrew Jengo mutabani wa Yiga omukulu.

Bukedde bwe yayogedde ne Nalukoola munnamateeka yategeezezza nti Kayima okuwaaba mu kiseera kino nga Yiga amaze kufa, yali yeetegeka okukikola Yiga n'afa era tewali muntu yenna yali ayinza kuteebereza ddi Yiga lwe yali agenda okufa asobole okuwaaba nga tannaba kufa.

Munnamateeka Nalukoola

Naye ekirungi etteeka likkiriza okuwawaabira omuntu yenna abeera alondeddwa okulabirira ebyobugagga by'omugenzi ate Kayima bwe yali akuba akalango teyakolagana na Yiga ng'omuntu wabula kkampuni eya ABS ekyaliwo era ekkirizibwa okuwawaabirwa.

Waliwo ekigambibwa nti omuwendo gwa TV ya ABS yonna eyinza okubeera nga teweza bukadde 730 bwe bagiragira okusasula kyokka Nalukoola yagambye nti omuntu bw'aba awaaba omusango, ye tasobola kupima muwendo gw'oyo gw'awawaabira wabula okumanya omuwendo gwa ssente ye z'abanja.

"Singa omusango gugenda mu kkooti Kayima n'aguwangula ne kisangibwa nga TV kye ky'obugagga kyokka ekiriwo ekiyinza okuvaamu ssente ezisasula ebbanja, kkooti esobola okuwa ekiragiro ne batunda TV ne basasula ebbanja lya Kayima," Nalukoola bwe yannyonnyodde.

Nalukoola bwe yabuuziddwa lwaki Kayima awaaba ng'ate yabikola akyali mukyala wa Yiga ekitegeeza yabikolera mu mukwano, yazzeemu nti omuntu ne bw'aba mukyala wo bizinensi eba ya njawulo ku by'omukwano ate ng'ebya ttivvi baabikola nga bizinensi si bya laavu.

Kayima yategeegezezza Bukedde nti ye yawadde bannamateeka ebiragiro okuwawaabira ABS wabula abadde akyalina emisango emirala egimuwuuba kyokka bagenda kutuula olwaleero okusalawo ekiddako.

OMUSUMBA JENGO AMWANUKUDDE
"Ebyo nabikwasizza balooya bange naye kye mmanyi nti teyandibadde ye n'abanja olw'okuba talina bujulizi nti yalina okusasulwa. Mu guno omusango nze ndaba talinaamu wadde siringi 100 ky'anaafunamu, simanyi na lwaki yakikoze. Ayinza n'okukkakkana ng'ate ffe b'aliyiridde kubanga naffe tulina okwewozaako. Tewali ndagaano gye yakola ng'eraga nti yalina okusasulwa era kye yakoze kyewuunyisa." Jengo bwe yategeezezza Bukedde.

Ku ky'okuba nga yawaabye ate nga bye yakolera ttivvi yabikola ne Yiga eyali bba, Jengo yazzeemu nti, "Mbadde sikimanyi nti yali maama wange, mu bakyala be mmanyi simumanyi."

Ku ky'ennaku ennya ezaaweebwa okuba nga ziweddeyo nga tebannamuddamu, yagambye nti bannamateeka bamanyi kye bagenda okuzzaako.

Yiga olwafa, Kayima yategeeza nti yali akkaanyizza naye nga ne mu by'obufumbo ayagala baddewo kubanga yali abuliddwa omusajja asinga Yiga.