Bawambye abeesimbyewo e Lubaga ne babakuba mizibu

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne babakuba mizibu, nga kati bapooca na bisago.

Abeesimbyewo babiri okuli;  Sharif Ssewannyana eyeesimbyewo ku bwa kansala bwa LC III ku kaadi ya DP mu muluka gwa Najjanankumbi II, ne Abdallah Ali Sseviiri atalina kibiina eyeesimbyewo ku kifo kya kansala LC III okukiikirira ekitundu kya Kabowa II omuli ebyalo; Kironde ne Simbwa ebisangibwa mu muluka gw'e Kabowa mu munisipaali y'e Lubaga be baatuusiddwaako ebisago eby'amaanyi.

Bano baalumbiddwa mu bitundu eby'enjawulo ne batuusibwako ebisago eby'amaanyi nga kati bapooceza mu malwaliro, wabula nga bombi abaabalumbye,  baabadde babalabula kuva mu lwokaano lwa byabufuzi.

 Abdallah Ali Seviiri omutuuze mu Kironde e Kabowa agamba,  baamusanze agenda mu kibuga gy'akolera ku ssaawa 12:00 ez'oku makya,  ne bamukiika emmotoka ekika kya Noa enzirugavu nga beesibye obukookolo mu maaso, ne bamukwata ku mpaka ne bamuyingiza mu mmotoka ne bamuvuga okutuuka ku Kalittunsi mu Kisenyi gye baasanze bannaabwe abalala ne bamukuba ne bamuleka ng'ataawa ne badduka. Abazirakisa be bamuddusizza mu kalwaliro oluvannyuma n'ayongerwayo mu ddwalairo eddene e Nsamba gyali mu kujjanjabirwa kati.

Ssewannyana Ng'alaga Ebipande Bye Bwe Baabiyuzizza

Ye Sharif Sewanyana ow'e Najjanankumbi agamba, abaamutuusaako obulabe baayita mu bakazi babiri abeefuula abalonzi be ne bamusaba abatwaleko, kyokka bwe yabatuusizza we baamugambye yasanzeewo abavubuka abaali ku pikipiki ne bazimukiika ne  bamukuba mizibu nga bwe  bamulabula okuva mu lwokaano oba ssi kyo waakulaba ekinaddako, yataasibwa pikipiki ezaali ziyita mu kkubo eryo.

Baamubbyeko essimu ne ssente obukadde busatu 3 ze yabadde nazo. Yagguddewo omusango ku fayiro SD; 76/23/11/2020  ku poliisi e Katwe, ono era baagenda maaso n'okutimbulula ssaako okusalaala ebipande bye ebisinga obungi.

Bano bagamba bali mu kutya kuba tebamanyi b'ani bali mabega w'ebikolwa bino ne basaba akakiiko k'ebyokulonda ne poliisi okwongera okunyweza obukuumi mu bitundu byabwe.