
OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu kampeyini z'omubaka wa Paalamenti ya East Africa Fred Dennis Mukasa Mbidde.
Mbidde y'akwatidde DP bbendera mu kuvuganya ku kifo ky'omubaka Paalamenti owa divizoni ya Nyendo-Mukungwe mu Masaka City.
Nabakooza obusolo abwekoledde mu lukungaana lwa Mbidde lw'akubye mu kabuga ke Mpugwe ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala mw'asabidde abalonzi bamusindike mu Paalamenti abasakireyo ebinaabakulaakulanya.
Bakira Nabakooza azina amazina ag'okwefunuggula n'abasajja ng'eno bw'ayiwayo entabaaza bakadde n'assa ababaddewo enseko.
Abatuuze be bategeezezza Bukedde nti Nabakooza musawo wa kinnansi naye ng'akabisi kamucamula n'ayitawo.