
OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba emiguwa bamwokye, ssentebe n'amutaasa.
James Okilu 28 omutuuze ku kyalo Kikoko mu ggombolola ye Busukuma mu Disitulikiti y'e Wakiso yasimattuse okufa abatuuze bwe baamukutte lubona ng'abba ebikozesebwa mu kuzimba okwabaadde sementi , akagaali n'ebirala.
Baamusibye ku mpagi y'enju ng'abamu basazeewo bamwokye kuba ayitiridde obubbi, ssentebe w'ekitundu, Vincent Kisozi we yatuukidde n'ayita poliisi n'emutaasa ku bantu abaabadde batasasirikako musale .
Kato Moses Mutyaba yategeezezza nti Okilu alina ekibinja ky'abavubuka abaatagala kukola nga basiiba mu kukuba zzaala, ng'ekiro batambula ku piki piki ne bamenya amaduuka n'amayumba.
Yagasseeko nti abantu tebanditwalidde mateeka mu ngalo naye poliisi ebamalamu amaanyi olukwata abamenyi b'amateeka babaggyamu ssente ne babayimbula .
Vincent Kisozi ssente w'ekyako yagambye nti ekibi tekisobola kuggyawo kibi ng'abatuuze kye baakoze eky'okusiba Okilu emiguwa kikyamu , yagasseeko n'abasaba abavubuka okukomya okwagala ssente ez'obwereere nga balina kukola
Okilu obwedda ebiyengeyenge bimuyitamu nga bw'asaba ekisonyiwo nga bwatagenda kuddamu kubba nga luno lwe lwasembye.
Ate Omukadde Koniladi nnannyini mayumba okusula Okilu yamulagidde oluva mu kkomera anoonye gy'alaga amuviire ku mayumba ge .